Exodus 6

1 aAwo Mukama n’addamu Musa nti, “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Falaawo. Kubanga alibaleka ne bagenda olw’amaanyi, era olw’amaanyi alibagoba mu nsi ye.”

2Katonda n’agamba Musa nti, “Nze Mukama. 3 bNalabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nga Katonda Ayinzabyonna; kyokka saabategeeza linnya lyange nti Nze Mukama. 4 cEra nabasuubiza mu ndagaano yange okubawa ensi ya Kanani, gye baabeerangamu ng’abagwira abatambuze. 5 dKaakano mpulidde okusinda kw’abaana ba Isirayiri abatuntuzibwa Abamisiri mu buddu, ne nzijukira endagaano yange.

6 e“Noolwekyo tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama. Ndibatikkulako emigugu gy’Abamisiri, era ndibawonya obuddu, ne mbanunula n’omukono gwange ogw’amaanyi nga nsalira Abamisiri omusango. 7 fNdibafuula abantu bange, era nnaabeeranga Katonda wammwe, era mulitegeera nga nze Mukama Katonda wammwe abawonyezza ebizibu by’Abamisiri. 8 gNdibaleeta mu nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigibawa n’efuuka yammwe. Nze Mukama.’ ”

9Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebigambo ebyo. Naye tebaamuwuliriza, kubanga emitima gyali gibennyise, nga n’okutuntuzibwa kubayitiridde.

10Awo Mukama n’agamba Musa nti, 11“Genda otegeeze Falaawo kabaka w’e Misiri aleke abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye.”

12 hNaye Musa n’addamu Mukama nti, “Laba, abaana ba Isirayiri bagaanyi okumpuliriza, kale Falaawo anampuliriza atya nze atayogera bulungi?” 13Naye Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni, n’abalagira bategeeze abaana ba Isirayiri ne Falaawo nti, Mukama abalagidde okuggya abaana ba Isirayiri mu nsi y’e Misiri.

Obuzaale bwa Musa ne Alooni

14 iGano ge mannya aga bajjajjaabwe ab’omu bika byabwe:

Batabani ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano:
Kanoki ne Palu, Kezulooni ne Kalumi.

15 jBatabani ba Simyoni:
Yamweri ne Yamini, ne Okadi, Yakini ne Zokali, Sawuli (omwana w’omukyala Omukanani).
Abo be b’omu mu bika bya Simyoni.

16 kGano ge mannya ga batabani ba Leevi ng’emirembe bwe giri:
Gerusoni ne Kokasi ne Merali.
Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
17 lBatabani ba Gerusoni be bano mu bika byabwe:
Libuni ne Simeeyi.
18 mBano be batabani ba Kokasi:
Amulaani ne Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri.
Kokasi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu.
19 nBano be batabani ba Merali:
Makuli ne Musi.
Abo be b’omu bika bya Leevi ng’emirembe gyabwe bwe gyali.

20 oAmulaamu n’awasa senga we Yokebedi; n’amuzaalira: Alooni ne Musa.
Amulaamu n’awangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
21 pBano be baana ba Izukali:
Koola ne Nefega ne Zikiri.
22 qAbaana ba Wuziyeeri be bano:
Misayeri ne Erizafani ne Sisiri.
23 rAlooni n’awasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu era nga ye mwannyina wa Nakayisoni. Yamuzaalira abaana bano: Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.

24 sBano be baana ba Koola:
Asira ne Erukaana, ne Abiyasaafu.
Abo be b’omu kika kya Abakoola.

25 tEriyazaali, mutabani wa Alooni, yawasa omu ku bawala ba Putiyeeri, n’amuzaalira Finekaasi.

Ago ge mannya g’abakulu b’ebika by’Abaleevi, n’ennyumba zaabwe mu bika ebyo.

26 uAbo ye Alooni ne Musa Mukama be yalagira nti, “Muggyeeyo abaana ba Isirayiri bonna mu nsi y’e Misiri.” 27Be bo abaayogera ne Falaawo, kabaka w’e Misiri, ku by’okuggyayo abaana ba Isirayiri mu Misiri. Ye Musa oyo, ne Alooni oyo.

28Ku lunaku olwo Mukama kwe yayogerera ne Musa mu nsi y’e Misiri, 29 vMukama yagamba Musa nti, “Nze Mukama. Tegeeza Falaawo, kabaka w’e Misiri, buli kimu kyonna kye nkugamba.” 30 wNaye Musa n’addamu Mukama nti, “Nze atamanyi kwogera bulungi, Falaawo anampuliriza atya?”

Copyright information for LugEEEE